Ezekiel 44:10-14

10 a“ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. 11 bBaliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. 12 cNaye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 13 dTebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. 14 eNaye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.

Copyright information for LugEEEE